Document Preview
Unlock Full Document & Resource Library
Join thousands of Ugandan students and educators accessing verified academic materials, past papers, and syllabi.
100% Free Downloads
Verified Quality Papers
All Academic Levels
No credit card required. StudyUganda is supported by partnering educational institutions.
Tags & Categories
Content Preview
2839 words
1 BYA NALUBEGA MARGARET BIRUNGI 0782397617 EKIFUNZE KYA MBAYIWA : Walabyeki Magoba . Walabyeki Magoba y’omu ku bawandiisi b’obutabo bw’olulimi oluganda obuyambye ennyo mu kukulaakulanya oluganda. Awandiise ebitabo omuli engero enjiiye (empanvu), emizannyo awamu n’ebitontome nga bino byonna birina obubaka obwenjawulo bwe butuusa eri omusom i. EDDIBA LY’AKATABO Omutwe gw’olugero Olugero luno lulina omutwe ogwa ‘Mbayiwa’ era nga guno gutwoleka engeri abantu ab’enjawulo bwe baali basuubirwa okukola ebintu ebigasa abalala kyokka ne bamaliriza nga babikoze kifuula nnenge. Ekifaananyi ku ddiba. Eddiba ly’akatabo kuliko ekifaananyi ky’abavubuka babiri (omuwala n’omulenzi) nga balabika ng’abaagalana abava oba abagenda mu cinema, kino kisunirako omusomi ku ebyo ebiri mu lugero. Olugero mu bufunze. Olugero luno lukwata ku muvubuka eyajjula amalala ng’ayagala okwetambuliza mu bintu eby’ebbeeyi. Omuvubuka ono Mbayiwa buli lwe yakwatanga ku ssente ng’azimalira mu kwerag a awamu n’okukyakaza abawala na ddala omuwala Ndibassa gwe yayagalanga okusanyusa, n’okumulaga nga bw’alina ssente enkumu/bw’ali binoj jo. Embeera y’okweraga eno yamuleeta okulya amabanja aga bulikaseera ku munywanyi we Ddola okusobola okugula engoye ez’ebbeeyi olwo ayambale atonnye asobole okusikiriza abawala. Yatuuka n’okulimba nnyina n’amutundisa embuzi ze, ng’amusuubizza okufuna enju gye bapangisa wabula n’akomekkereza ng’aziguzeemu ppikipiki, engoye ez’ebbeeyi awamu n’okuziyiwaayiwa mu kweraga n’okukyakaza Ndibassa. Ssente zaatuuka neziggwawo era ne ppikipiki n’agitunda. Omuwala gwe yamalirako ensimbi ze yamusiiga obulwadde bw’eki kaba bw’atyo ate n’adda mu 2 BYA NALUBEGA MARGARET BIRUNGI 0782397617 kwejjanjaba. Mu mbeera y’emu ne muganzi we Namusisi yali lubuto era ng’agobeddwa ewa mwannyina. Ebizibu byeyongera okumwesombera anti yabojjebwa n’omusota nnyina kye yawanuuza nti lyali ddogo okuva ewa Ssenga we Gubula. Yasalaw o agende ne nnyina ew’omuganga wabula ebyembi yayongera kufuna bizibu. Mu mbeera eno kitaawe mweyafiira ne batamuziika nako, yagobwa ku mulimu olw’okugulagajjalira, muganzi we naye yagobwa ku mulimu olw’okugaana okuganzibwa mukamawe Pita. Yagobwa mu nju kale nno ennaku n’atandika okugiyonka obutaaba. Yakolako ku mirimu gy’okusitula emigugu kyokka nagyo nga …
About This Document
S.3 Luganda Paper 2. Mbayiwa Handout Caltec S.3, published by Caltec Academy, is an educational document on StudyUganda.com covering Caltec Academy, S3 Class, Subject Luganda. This resource includes: "1 BYA NALUBEGA MARGARET BIRUNGI 0782397617 EKIFUNZE KYA MBAYIWA : Walabyeki Magoba . Walabyeki Magoba y’omu ku bawandiisi b’obutabo bw’olulimi oluganda obuyambye ennyo mu kukulaakulanya ……" (Format: PDF) — 207.14 KB, 11 pages. Added July 5, 2026.
Content Typeapplication/pdf
Attachment
Not available
Doc ID#992221
SHA-256 Integrity Hash
43154baa997a698e63d35bd73eeac5cf3948647cf2b59a645d3541fdabcdbfcb