Document Preview
Unlock Full Document & Resource Library
Join thousands of Ugandan students and educators accessing verified academic materials, past papers, and syllabi.
100% Free Downloads
Verified Quality Papers
All Academic Levels
No credit card required. StudyUganda is supported by partnering educational institutions.
Tags & Categories
Content Preview
1634 words
S.4 LUG PAPER ONE OKUWANDIIKA OBUJULIZI (SITATIMENTI) Obujjulizi bwe bubaka obuweebwa omuntu ku ebyo byaba yalaba nga bigwawo/bibeerawo. Omuntu bwaba awandiika obujjulizi awandiika ebyo byokka bye yalabaera tateekamu kutebereza. Ebikulu ebigobererwa • Omutwe okugeza obujjilizi ku kugya kw’essomero • Amannya go n’emyaka • Ekifo mwobeera • Ekiti mw’ogwa okugeza mufumbo, si mufumbo, muyizi, musomesa • Nyonnyola mu bujjuvu ebyabaddewo • Ekifo n’essaawa mwe kyaber eddewo • Abantu ababadde be nyigiddemu • Ensoga eziyinza okuba nga zaviriddeko ekyo kyowerako obujjulizi • Abaabaddewo kye bakoze • Bwekaba kabenje laga abakoseddwa ne kye bakoleddwa • Ebyaddiridde • Omukono gwo (signature) • Amannya go • Ennaku z’omwezi EKYOKULABIRAKO OBUJJULIZI BWANGE KU KUTTIBWA MUKYALA MAGALA Nze Nalule Rose (36) nga mbeera Katwe ndi mufumbo era nga nina abaana babiri era nga nkolera mu katale ewa Kisekka mpa obujjulizi bwange ku kuttibwa kwa mukyala Magala era nga bye ηηenda okwogera mazima mereere bino bye nalabye. Akawungeezi k’eggulo be navudde ku mulimu nayitiddeko ewa mukyala Magala okumubuuzaako n’okulaba ensonga lwaki teyaze ku mulimu yanyumirizaako engeri gye yabadde omugonvu nti era yabadde afunye obubaka obutiisa ku ssimu ye o bwabadde bumusuubiza okumumiza omusu olw’okulemera mu kibanja ekyo. Gye buvuddeko mukyala Magala yali yafuna obutakaanya n’abeηηanda ze ku kibanja ekyo era n’ensonga ne zitwalibwa mu b’obuyinza. Bwe navuddeyo namulese mubootteevu wabula ekiro ku ssaawa nga mukaaga nawulidde akanyolagano ewuwe era bwe nagenze okuwenjula olutimbe ningize mu ddirisa nalengedde abasajja basatu nga badduka nga bakute ebintu mu ngalo byesategedde kubanda ekitangaala ky’ omwezi kyabadde kizimeera wabula byafaananye emiggo. Oluvanyuma nawuliddde enduulu ezaleese abantu era twagenze okutuuka nga mukyala Magala bamutemye ebiso ku mutwe era yaddusiddwa mu ddwaliro e Mulago gye yafiiridde ebyo bye nnalabye. ……………….omukono gwo NALULE ROSE 29/03/2020 OKUKOLA ENDAGAANO ETUNDA Ebimu ku bintu ebikulu bye tulina okufaako nga tutunda oba okugula ebintu eby’enjawulo naddala ebintu ebikalu kwe kukola …
About This Document
S.4 Luganda Paper 1 Caltec S.4, published by Caltec Academy, is an educational document on StudyUganda.com covering Caltec Academy, Paper 1, S4 Class, Subject Luganda. This resource includes: "S.4 LUG PAPER ONE OKUWANDIIKA OBUJULIZI (SITATIMENTI) Obujjulizi bwe bubaka obuweebwa omuntu ku ebyo byaba yalaba nga bigwawo/bibeerawo. Omuntu bwaba awandiika obujjulizi awandiika ebyo byokka ……" (Format: PDF) — 151.52 KB, 7 pages. Added July 5, 2026.
Content Typeapplication/pdf
Attachment
Not available
Doc ID#988734
SHA-256 Integrity Hash
f285b46f68cfcc2a80f6ba2867ab89f070c2f7ab6236241c757cf289c9aa9199