Document Preview
Unlock Full Document & Resource Library
Join thousands of Ugandan students and educators accessing verified academic materials, past papers, and syllabi.
100% Free Downloads
Verified Quality Papers
All Academic Levels
No credit card required. StudyUganda is supported by partnering educational institutions.
Tags & Categories
Content Preview
4423 words
BYA NALUBEGA MARGARET BIRUNGI 0782397617 1 AGAMYUKA OMUTEZI: Nkata Musa MUTYABA. ENNYANJULA Olugero luno Agamyuka Omutezi lwawandiikibwa Nkata Musa Mutyaba nga mu lwo atwoleka enneeyisa y’abantu mu bulamu obwabulijjo wabula ng’atwolese obuzibu obwolekedde bannamawulire mu mulimu gwabwe awamu n’eneeyisa ya bannabyabufuzi n’abakuuma ddembe mu ggwan ga. Omuwandiisi ateeka emiramwa egyenjawulo mu lugero lwe asobole okutuusa obubaka eri omusomi we awamu n’okukyusa omusomi we mu nneeyisa ye. Omutwe gw’olugero Omuwandiisi lugero lwe aluzimba n’omutwe ogwa “Agamyuka Omutezi” oluggwaayo nti Agamukya Omute zi n’akasolo. Olutegeeza nti Omuntu yenna obuzibu by’ayitamu ng’akola ekintu bukosa n’oyo gw’aba akitusaako. Mu lugero lwe luno atwoleka abantu abafuba okunyigiriza bannabwe naye ate gye biggweera nga nabo bafunye obuzibu. Omutwe gutusikiriza okusoma olu gero. Ekifaananyi ku ddiba Eddiba ly’Akatabo lirina ekifaananyi ky’omusajja alina camera ng’atikidde emikono ku mutwe era ng’akutte akatabo awamu n’ekkalaamu ekitwoleka nga yandiba munnamawulire. Ekifaananyi kino kitwoleka ng’omusajja ono atabuddwa era n g’omulimu gulabika gumuzitooweredde. Ekifaananyi kino kisunira ku musomi ku ebyo ebiri mu lugero bwe gutyo ne kimusikiriza okusoma olugero. Ebikwata ku muwandiisi Nkata Musa Mutyaba Lwanaweetaase azaalibwa Nkokonjeru mu Kyaggwe. Emisomo gye - Yasomera Kiyo ola N.A.C. Parents’ S. S. - St. Peter’s Nkokonjeru. - Makerere University gye yafunira Ddiguli mu busomesa. Emirimu gy’akoledde Eggwanga - Imam omukulu ow’omuzigiti gw’e Nkokonjeru. - Yaliko Omukulu w’essomero lya Nkokonjeru Umea P/s. - Yali kkansala ku L.C. I II Nkokonjeru Town Council. - Yaliko omusasi w’amawulire ow’olupapula lwa Munnansi. - Yaweerezaako ku leediyo Bilaal ku Puloogulamu Obusiraamu n’obuwangwa. - Musajja mufumbo era muzadde. - Mulimi ate omulunzi. BYA NALUBEGA MARGARET BIRUNGI 0782397617 2 - N’ebirala. OLUGERO MU BUFUNZE Olugero luno lwetoloolera ku munnamawulire Abdu Tabula eyeesimba mu munnamaggye Meeja kaberenge eyali akola ebikolwa eby’okutulugunya abantu ab’omu maka ge n’abatali awamu n’okutwaliramu munnamawulire ono. Olugero lutwoleka ebintu ebyenjawulo ebituuka ku bantu kyokka bo ne batya okuvaayo okubyanja …
About This Document
S.5 Lug Paper 3 Agamyuka Omutezi Hand Out.Docx Caltec S.5, published by Caltec Academy, is an educational document on StudyUganda.com covering Caltec Academy, S5 Class. This resource includes: "BYA NALUBEGA MARGARET BIRUNGI 0782397617 1 AGAMYUKA OMUTEZI: Nkata Musa MUTYABA. ENNYANJULA Olugero luno Agamyuka Omutezi lwawandiikibwa Nkata Musa Mutyaba nga mu lwo atwoleka enneeyisa ……" (Format: PDF) — 234.03 KB, 13 pages. Added July 5, 2026.
Content Typeapplication/pdf
Attachment
Not available
Doc ID#068913
SHA-256 Integrity Hash
f49c7ab7594cb7210905822812c1dfe6e260055354e907dd2d8aeda96c7439e6