Document Preview
Unlock Full Document & Resource Library
Join thousands of Ugandan students and educators accessing verified academic materials, past papers, and syllabi.
100% Free Downloads
Verified Quality Papers
All Academic Levels
No credit card required. StudyUganda is supported by partnering educational institutions.
Tags & Categories
Content Preview
4917 words
OKUGOLOLA ENSOBI Bwe weesigama ku mateeka g’empandiika entongole awamu ne ggulama gwe tusomye , tuyinza okumweyambisa okugolola ensobi zonna eziba zikoleddwa mu mpandiika y’olulimi oluganda . bw’oba ng’onoogolola ensobi zonna ziggweemu bino by’ogoberera Ebikulu ebigobererwa mu kugolola ensobi. - Sooka osome ekitundu / sentensi ekuweereddwa osobole okulaba ensobi - Saza ku nsobi ezeeyolekedde mu kitundu oba sentensi - Manya ebintu ebyenjawulo ensobi mwezitera okweyolekera. - Golola ensobi /ddamu owand iike sentensi ng’oggyamu ensobi ezirabikiddemu ng’osinziira ku mateeka agafuga olulimi. Ebintu ebyenjawulo ensobi mwe zeeyolekera Ensobi ezeeyolekera mu sentensi / ekiwandiiko zeesigama ku bino era by’osaana okwekeneenya Empandiika Entongole Kino ky’ekitun du ekikulu ensobi ezisinga mwe zeeyolekera era y’ensonga etuleetedde okutunuulira akatundu kano oluvannyuma lw’okusoma empandiika. Mu mpandiika entongole bino byetussaako essira nga tugolola ensobi (i) Enkozesa y’ennukuta Ennukuta zonna eziri mu Walifu zirina amateeka gaazo ag’empandiika singa gamenyebwa awo ensobi wejjira. Ennukuta ze tugenda okusinga okwekeneenya ze zino Empeerezi Wano weetegereza amateeka gonna agafuga empandiika y’empeerezi kubanga ensobi mwe zeeyolekera okugeza (i) Naiga aweereddwa omug aati. Ekituufu: Nayiga aweeredwa mugaati. Ensonga: empeerezi ebbiri ezitafaanagana teziwandiika wamu mu kigambo. (ii) Eente etomedde omwana Ekituufu: Ente etomedde omwana. Ensonga: Empeerezi ebbiri tezitandika kigambo. Okuwangaala Weetegereze oba ekigambo kirim u eddoboozi eriwangaala naye nga teriteereddwamu okugeza (i) Omuyizi awata emmere Ekituufu: omuyizi awaata emmere. (ii) Tetutera kulota misana Ekituufu: tetutera kuloota misana. Nampawengwa (i) Omukyaala atutte omwana mu ddwaliro. (ii) Omutwaalo gwange gugudde (iii) Nasanze omuwwala ku luzzi. - Mu sentensi esooka ensobi eri mu kigambo omukyaala ekituufu kiri omukyala. Ensonga : ensirifu bwegattibwako nampawengwa ku ddyo tetuwangaala. - Mu sentensi eyookubiri ensobi eri mu kigambo omuwwala ekituuf u kiri omuwala Ensonga: Nampawengwa teziwandiikibwa bbiri wmu mu kigambo (teziggumira) Nakinnyindwa (i) Ageenze mu kiraalo (ii) Baleese enŋoma (iii) Otusanze enjjala etuluma - Mu sentensi esooka ensobi eri mu kigambo ageenze ekituufu kiri agenze. …
About This Document
S.5 Luganda Notes 1.Docx Caltec S.5, published by Caltec Academy, is an educational document on StudyUganda.com covering Caltec Academy, S5 Class, Subject Luganda. This resource includes: "OKUGOLOLA ENSOBI Bwe weesigama ku mateeka g’empandiika entongole awamu ne ggulama gwe tusomye , tuyinza okumweyambisa okugolola ensobi zonna eziba zikoleddwa mu mpandiika y’olulimi oluganda ……" (Format: PDF) — 299.10 KB, 24 pages. Added July 5, 2026.
Content Typeapplication/pdf
Attachment
Not available
Doc ID#889392
SHA-256 Integrity Hash
61c2a81e20f3f4259854931784d239e9117174001cacfb13bbb6d9162281572d