Download S.6 Luganda Okuweesa Culture 2 (1) Caltec S.6 (PDF) | UNEB Past Papers & Notes | StudyUganda

S.6 Luganda Okuweesa Culture 2 (1) Caltec S.6

Login to Download
S.6 Luganda Okuweesa   Culture 2 (1) Caltec S.6 Cover
Preview page 1
File Type PDF
File Size 309.71 KB
Pages 4
Added Jul 05, 2026

Document Preview

Unlock Full Document & Resource Library

Join thousands of Ugandan students and educators accessing verified academic materials, past papers, and syllabi.

100% Free Downloads
Verified Quality Papers
All Academic Levels

No credit card required. StudyUganda is supported by partnering educational institutions.

PDF 309.71 KB 4 pages Jul 05, 2026 Caltec Academy
Share: Tweet WhatsApp

Content Preview
1136 words

1 Bya. Ssekimwanyi Musa – 0705 33 27 05 / 07 77 023795 Bya, SSEKIMWANYI MUSA - 0705 33 27 05 / 0777 023795 Asomesa mu Kyaddondo S.S Matugga. OKUWEESA MU BUGANDA Omulimu gw’okuweesa gwadda nnyo, era gwe gumu ku mirimu emingi ennyo Abaganda gye baakolanga mu byalo byabwe. Abaganda baakakasanga nti omuntu asinga bonna amagezi obukugu n’obuyiiya, ye muweesi. Omulimu gw’okuweesa gwatandikira Buddu , essaza eryanyagibw a ku Bunyoro. Kigambibwa nti okuweesa kwatandikira ku mulembe gwa Ssekaba ka Jjunju; era ne gutinta nnyo ku mulembe gwa Ssekabaka Muwanda Ssekabak a Mawanda yakyaza Omunyoro kafulu mu kuweesa eyali ayitiibwa KAKONGE . Olw’obuganzi eri Ssekabaka Mawanda, Kakonge yaweebwa (Ssekabaka Mawand ayawa Kakonge) ekyalo Nnamumira mu Kyaggwe. Mu bintu ebyaweesebwanga mwalingamu obwambe, amafumu, enkumbi , Embazzi , amajambiya, ensimo, Emyambe gy’Abalubaale, Empis , Enkato, endege, akayyuuya n’ebirala. OKUWEESA KWENNYINI. Nga tuzze ku mulimu gwennyini ogw’okuweesa, abawesi baasokang a kunoonya n’okusima amayinja agalimu ekyuma agayitibwa AMATALE; okuva mu nsozi oba ku mbalama z’ennyanja Nalubaale. Bwe baagafunanga, baagatwalanga mu kifo ekimu okugasaanuusa. Baasimanga ekinnya ekitonotono ne bakizimbako akasenge ke bayita EMBIGU, oku tangira omuliro okubookya. Embigu baagizimbanga okwetooloola ekinnya mu ttaka ly’enkulukuku . Ku kinnya n’embigu byateekebwangako. EMIVUBO (Bino biba bituli ebirekebwa mu mbigu oba akasenge akeetooloola ekinnya). Emivubo gyasibwangako eddiba ly’endig a ensowole nga kuliko ENKERO (emidumu) omuweesi ly’akozesa okufukuta empewo mu kinnya, okutuusa amayinja lwe gaasaanuukanga. Mu kinnya wansi, basoookangayo ebinyusi by’ebitoogo ne bazzaako amayinja amatale ate kungulu ne basembyako Amanda amagumu amand a gano gaatokebwanga mu miti emigumu nga akamenyambazzi, enzo, omuzzaŋŋanda, omuttampindi , kibeere ennongo n’emirala. Ebyo nga biwedde, olweggulo ennyo batandika okufukuta ebyuma byabwe. Okufukuta kukolebwa kiro olw’okwewala ebbugumu n’omusana, era omulimu guno gwakolwanga kumpi kukeeseza ddala budde; anti buli kin nya kyabeerangako emivubo nga munaana. Amayinji nga gasaanuuse, gakulukutira mu binyusi, ate nga nabyo biyidde bifuuse evvu. Evvu …

About This Document

S.6 Luganda Okuweesa Culture 2 (1) Caltec S.6, published by Caltec Academy, is an educational document on StudyUganda.com covering Caltec Academy, S6 Class, Subject Luganda. This resource includes: "1 Bya. Ssekimwanyi Musa – 0705 33 27 05 / 07 77 023795 Bya, SSEKIMWANYI MUSA - 0705 33 27 05 / 0777 023795 Asomesa ……" (Format: PDF) — 309.71 KB, 4 pages. Added July 5, 2026.

Content Typeapplication/pdf
Attachment Not available
Doc ID#134653
SHA-256 Integrity Hash aa360cc4c06f01d7bda69ab1dd529a9e5e65b9c2a73b6d48b905823e811d948b
Link copied!